Dr Kiiza Besigye alumbye gavumenti olw’okulwaawo okuliyirira abantu b’omu bukiikakkono abakosebwa olutalo lwa Kony.
Ng’awenja akalulu mu bitundu bye Lira, Besigye agambye nti kyannaku nti mu kadde kano, waliwo abatiisatiisa abali mu bukiikakkono bw’eggwanga nti ssinga balonda pulezidenti Museveni ssi bakuliyirirwa.
Besigye bano abakakasizza nti k’akwata ku ntebe bakusasulwa awatali bukwakkulizo.
Olutalo olwamala emyaka egisoba mu 20 lwafiiramu abantu bayitirivu ate ng’abaviibwaako abaabwe n’ebyaabwe tobala