Pulezidenti Museveni olwaleero atalaaze ebitundu bya Mukono ne Wakiso ng’eno gy’asinzidde neyenyamira olw’obulwadde bwa mukenenya obutevunyiza mu banna wakiso.
Kiddiridde abasawo okumutegeeza nti yadde mu Uganda yonna, emiwendo gy’abalina mukenenya giyimiridde ku bitundu 7 ku kikumi, e Wakiso giweza ebitundu 10 ku kikumi.
Pulezidenti wano w’asinzidde n’asaba abazadde mu disitulikiti eni okwogera n’abaana baabwe ku bulwadde buno n’akabi akabulimu.
Pulezidenti ng’ayogerako eri abantu be Kasangati agambye nti yadde waliwo eddagala eriweweeza ku mukenenya, ekisinga obukulu kwekuuma butafuna bulwadde buno.