
Omuyimbi Daniel Kazibwe amanyidwa nga Ragga Dee asabye abantu b’omu Kampala okumulonda olwo afUuke jjaja wa Kampala.
Bino abyogeredde mu Kampala gy’abadde ng’atambula abuUza ku basuubuzi wamu n’okusaba akalulu akanamutuusa mu ntebe y’obwa meeya.
Ono agaseeko nti abavubuka bangi abatalina mirimu mu Kampala Kyokka nga balina ebitone eby’enjawulo bye bayinza okukozesa okwetandikirawo emirimu kale nga nabo wakubakwata ku mukono.
Ono ali mulwokano ne Ssalongo Erias Lukwago, ne Issa Kikugwe owa DP.
Yye ayagala entebe y’obwa Meeya e Makindye Sulaiman Ssendikwanawa asiibye mu bitundu bye Ndeeba,Nateete ne Lungujja ng’asaba kalulu .
Ono agamba wakulwanirila abantu babulijjo obutagobwa webakolera, okuzimba emyala n’ebirala binji.
Ono avuganya ne meeya aliko Joyce Ssebuggwawo nabalala bangi.