Skip to content Skip to footer

Ogwa Zuma okulongoosa amaka ge gutandise

File Photo: Amaka ga Jacob Zuma
File Photo: Amaka ga Jacob Zuma

Kkooti ey’okuntikko mu South Africa etandise okuwulira omusango ogwawaabwa abavuganya gavumenti nga bagaala pulezidenti ali mu ntebe Jacob Zuma akomyeewo ensimbi zeyakozesa okuddabiriza amaka ge.

Alipoota eyakolebwa mu mwaka 2014 eraga nti Zuma yali alidde nga mulimi bweyawaayo enyumba ye erongoosebwa ng’essibwaako n’ekidiba ekiwugirwaamu.

Zuma yazzaawo ezimu ku nsimbi zino nga kati kkooti yakusalawo oba yamenya mateeka oba nedda

Abavuganya Zuma olwaleero bakutte ebipande nebayisa ebivvulu okutuuka ku kkooti nga bavumirira ekikolwa kya Zuma.

Leave a comment

0.0/5