Skip to content Skip to footer

Senkaggale wa DP Mao awummudde

MAO @ DP Press conference 3

Mu kibiina kya DP ebyobufuzi bitandise okunyuma oluvanyuma lwa Loodimeeya Erias Lukwago okutegeeza nga bw’awagira kakuyege nga ttabamiruka tannatuuka era ng’ono atandise n’okulingizaako mu ntebe y’omukulembeze w’ekibiina

Olwaleero, akulira ekibiina kino Nobert Mao alangiridde nga bw’asazeewo okugoberera amateeka g’abasawo awummulemu ebyobufuzi by’ekibiina kyokka nga agenze akukkuluma

Ono alumbye Lukwago n’aba DP Buganda okumulwanyisa nga bakozesa amakubo amakyaamu

Mao kyokka agamba nti kino tekitandise kati ng’aludde nga bamulwana olw’eggwanga lye n’eddiini

Leave a comment

0.0/5