Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja asiimyeokulabikako eri obuganda mu saaza lye elye Buddu okuggulawo emipiira gyamasaza nga ennaku zomwezi 13 omwezi guno ogwokutaano.
Bino byasanguzidwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye baddiifiri abagenda okulamula emipiira gy’Amasaza okuba abeerufu n’okulinnyisa omutindo nga balamula empaka zino.
Katikkiro ategezezza nti Empaka z’emipiira gy’Amasaza ziri ku mutendera gwa waggulu kuba gibeerayo buli kaseera ate n’egyettanirwa abantu bangi ekitegezza nti omuntu bw’azikozesa obulungi kimwanguyira okweyongerayo ku ddaala.
Ono atangazizza o nti omukulu wEssaza yalina obuvunaanyizibwa ku ttiimu era abaddukannya ttiimu bwe bafuna obutakkanya gwe balina okutuukira kati asabye abawagizi okulaga empisa nga bawagira okusobola okukuma omulamwa gw’okunyweza enkolagana mu bantu ba Ssaabasajja.