Ssabasajja Kabaka asabye bannayuganda okufuna eky’okuddamu eri omuze gw’okulya enguzi n’obulyaake ebizinzeeko eggwanga
Bino ssabasajja abitadde mu bubaka bwe obwa Eid eri abayisiraamu nga bateekateeka okujaguza okumalako ekisiibo.
Asiimye abo abasiibye, okwerekereza, okusaala , okugabira abatalina n’abakoze ebikolwa ebirungi era n’abasaba okusigala nga babikola.
Ssabassajja kyokka era agambye nti kyannaku nti Eid eno egenda kukwatibwa ng’abamu ku bayisiraamu empagi luwaga tebaliiwo olw’okuttibwa mu mwezi.
Abayisiraamu basuubirwa okukwata Eid Elftri olunaku lw’enkya.
Zzo enteekateeka z’okusala Eid zifulumiziddwa.
Okusaala ku muzikiti omukulu ogwa kampala mukadde kusuubirwa okutandika ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’oku makya
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje y’asuubirwa okukulemberamu okusaaza
Omwogezi wa supreme council Hajj Nsereko Mutumba asabye abantu okugoberera amateeka nga batuuse ku muzikiti omuli n’ag’ebyokwerinda
Ate e Kibuli okusaala kwakutandika ku ssaawa nnya ate ng’abatabuliiki bakusaalira mu kisaawe e Nakivubo ku ssaawa nnya.