Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi aagaanye okujjayo empapula z’okwesimbawo mu kamyufu k’ekibiina kya NRM oluvanyuma lw’okukuba ebituli mu mateeka g’ekibiina kye.
Mbabazi ategezezza nga bwekitakola makulu Muntu kugyayo foomu n’asasula ssente ze nga tanasoma bikwata ku kifo ky’ayagala
Ategezezza nga amateeka ku nsimbi zino bwegatategerekeka kale nga okuwaayo ssente ze n’okugyayo foomu z’okwesimbawo agenda kusooka kwekenenya mateeka agakamyufu k’omulundi guno.
Mu kuwanyisiganya ebigambo n’akulira akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya NRM Tanga Odoi, Mbabazi asabye akakiiko akatwala ekibiina kino okukyusa mu mateeka gano.
Mungeri yeemu Mbabazi aweze nga bw’agenda okugenda mu maaso n’okwebuuza kwe yadde nga okwasooka poliisi yakulinyamu eggere.
Wabula ssentebe w’akakiiko ka NRM akalondesa Tanga Odoi ategezezza nga Mbabazi bw’ayolekedde okusubwa okusunsulibwa singa amateeka tegakyusibwamu.
Odoi ategezezza nga bbo bwebatagenda kulinda nongosereza mu mateeka okuva eri akakiiko akatwala ekibiina kino nga era okusunsula abagenda okwesimbawo kwakukomekerezebwa nga 31st July 2015.