
Ssabasajja asimbudde okuva ku lubiri lwe e Bujumba mu sazza e Sssese era nga ayaniriziddwa Kamala Byonna wa Buganda oweek Charles Peter Mayiga, Maama Nabagereka Sylvia Naginda, ba Minister ba Buganda, Kweba Fr Christopher Walusimbi awamu n’abalala bangi abamazze okutuuka mu kiffo ewali emikolo gino.
Emikolo giguddwawo na kitambiro kya misa ekikulembeddwamu atwala obuklabirizi bwe Masaka Bishop Kaggwa.
Guno gwemulundi ogusoose sabasajja okujaguza amatikkira ge e Ssese ku mulamwa ogw’okukulakulanya obyenjigira n’obutonde bwensi nga tuyita mu Masazza g’obwakabaka.
Emikolo gikyagenda mu maaso era nga Sabasajja asuubirwa okukwaasa team ye Ssingo ekikopo kyeyawangudde mu mipiira egyazanyiddwa mu mpaka ez’amatikkira.