Skip to content Skip to footer

Ssabassaja akunze ku bulungi bwa nsi

File Photo: Kabaka nga yogeera
File Photo: Kabaka nga yogeera

Ssabasajja Kabaka  wa Buganda Ronald  Muteebi 11 akunze abantu okujjumbira bulungi bwansi olwo basobole okulwanyisa endwadde.

Mu kusabira Omutanda okubadde mu muzikiti e Kibuli, Minisita wa ssabasajja akola ku byenjigiriza owe Dr. Twaha Kawaase agambye nti abantu okumala gamansa  kasasiro kwekiviriddeko endwadde okweyongera.

Kawaase agambye nti ssabasajja kabaka ayagala abantu okuba abayiiya nga basobola okukozesa kasasiro okukolamu ebintu ebirala ng’amanda.

Bino bijidde mu kiseera nga Buganda yetegekera okukuza olunaku lwa bulungi bwansi olugenda okukwatibwa nga 8 omwezi guno e Ssentema mu ssaza lye Busiro.

Leave a comment

0.0/5