ByaProsy Kisakye
Omubaka wa Kawempe North omulonde, Muhammad Segirinya yesunga plamenti.
Ono alambise enaku 100 ezisooka, ngagambye nti zigenda kumuyamba okwekubamu toochi ngakirira abantu be.
Bwabadde ayogerako naffe Ssegirinya agambye nti amangu ddala nga yakalayira, waakudda mu bantu okwongera okuzuula ebizibu ebibadde biruma abantu.
Agambye nti agenda kukozesa ezimu ku ssente zebawa ababaka okugula mmotoka okuyamba abavubuka okubatonderawo emirimu, okuyamba abaana bantu baabwe abafudde mu biseera byokulonda.
Ssegirinya agambye nti talaba nsonga lwaki avuga mmotokaeye bbeyi, ngabantu be bali mu mbeera embi.