Bya Ndaye Moses
Omumyuka womukulembeze we gwanga Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi nga naye asabidde Rubaga, abase akazindaalo nawolerezza ennongosereza ezakoleddwa mu ssemateeka we gwanga.
Agambye nti yoomu ku bakola ssemateeka wa 1995, kyabadde kigwanidde, kubanaga batekamu akawayiro ssemateeka okukwatwako.
Wabula asanze akaseera akazibu, okunyonyola abakirzza bwebatanudde okuvuvuuma nokumukuba olube olwebyo byabadde ayogera.
Ssekandi wabula asabye abantu okubeera abakakamu, nti kyonna ekyakoleddwa kyatukiddwako ku lwobulungi.