Skip to content Skip to footer

Todwongo yegaanye okuberako mu UYD

Bya Ivan Ssenabulya

Omumyuka wa ssbawandiisi wa NRM, Richard Todwongo yegaanye okubeera nti yayitako mu kiwayi kyabamusaayi mutto ba DP ekya UYD.

Bwwebabadde abogera ne banamwulire mu Kampala, bwebalagidde nti batonzeewo ekibiina ekigatta banabyabufuzi bonna abayitako mu UYD nga bakulembeddwamu omubaka we Butambala, Muhamad Muwanga Kivumbi bakowodde bonna abaddukira mu bibiina ebiralala okukomawo okulwana kulwe gwanga.

Bano banokoddeyo ssbawandiisi wa NRM Justine K. Lumumba nomumyuka we Richard Todwong, Rosemary Namanja omuwankika wa NRM nabalal bangi bebagamba nti baliko mu UYD.

Wabula Todwong bino abyegaanye, nagamba nti taberangako memba wa kibiina kirala kyonna okujjako NRM, nga yye yali mukulembeze wabayizi e Makerere, nga tanegatta ku kibiina kyonna, bano nebalowooza nti ali wamu nabo.

Ekibiina kyabaliko mu UYD kigenda kutongozebwa nga 2nd May ku UMA e Lugogo.

Leave a comment

0.0/5