Skip to content Skip to footer

Bamuse lwakubba mbuzi

Bya Abubaker Kirunda

Omusajja owemyaka 38 akubiddwa okutuuka okufa abatuuze ku kyalo, Kitigoma mu munisipaali eye Njeru nga bamulanga kubba mbuzi.

Muhammed Yiga kigambibwa abadde ne banne babiri wabula, absobodde okudduka.

Ono abatuuze bagamba nti bamuguddeko lubona, ngatunda embuzi enzibe, nebamulumba namajambiya nebamutematema okutuusa lwasizza ogwe nkomerero.

Akulira emisango gyobutemu ku poliisi ye Njeru Balisanyuka Iaiko akaksizza nti webatukidde, ngono bamusse.

Kati poliisi ejjeewo ebisgalira nebitwalibwa mu gwanika lye ddwaliro e Jinja, ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5