Skip to content Skip to footer

Uganda ekyalemereddwa okulwanyisa enguzi

Bya Ritah Kemigisa

Democrasiya atawera mu Uganda nobutabaawo bumalirivu bwabakulembeze kyekizizza Uganda emabega mu kulwanyisa enguzi.

Bino birabikidde mu alipoota efulumizddwa aba Transparency International eya 2018.

Alipoota eno yakolebwa ku mawanga 180 wabulanga Uganda yeyongeddeko ebifo 2, okuva ku 151 mu 2017 okudda mu 149.

Wabula mu bibalo ebyawamu Uganda ekyali ku bubonero 26.

Bwabadde afulumya alipoota eno ssentebbe wa Transparency International, John Mary Odoi agambye nti gavumenti ezze yeyama okuwlanyisa enguzi, nayenga obweyamu tebutekebwa mu nkola.

Kuno agambye nti kukyalin kusomozebwa kwamaanyi.

Rwanda yekyakutte engabo mu kulwanyisa enguzi wano mu mawanga ga East Africa, negobererwa Tanzania atenga Burundi, bebasembayo.

Amawanga okuli Denmark ne New Zealand, gegasinze okulwanyisa enguzi mu nsi yonna, atenga Somalia, Syria ne South Sudan bebakwebera, ngolutalo ku nguzi lulabika lubalemeredde.

Leave a comment

0.0/5