Skip to content Skip to footer

Museveni ssiwakuddamu kugaba ssente mu mpeke

Bya Sam Ssebuliba

Olukiiko olwaba minister  luyisizza ekyomukulembeze we gwanga okutonanga ssente eri abantu wabula nobukwakulizo obwamanyi.

Bino webijidde nga palamenti yemulugunya kungeri omukulembeze w egwanga gyagenda agabamu ssente wabula awatali bwerufu.

Kyakanyiziddwako nti teri kuddamu kugaba ssente mu mpeke.

Bwabadde ayogera ne banamwulire omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo agambye nti baakizudde nga waliwo obufere mu kugabanga ssente, nga waliwo obwetaavu okulungamya.

Kati mu bigenda okukolebwa, tewali bibiina bigenda kuddamu kuweebwa ssente nga tebiraze ntekateeka nambulukufu nebiwandiiko ebibakwatako.

Ebibiina nabantu abagala ssente bakuyambibwanga, omubaka wa gavumenti nomubaka wa palamenti, okukola ku byetagisa nga tebaddukira wa presidenti okusaba ssente.

Leave a comment

0.0/5