Amawulire
Ekikwekweto e Masaka
Police e masaka ekutte abantu 32 mu bikwekweto byaabyo byokufuuza abamenyi bamateeka abeeyongera buli lukya mukitundtu kino. Kino kiddiridde obutemu obususse nga ne juuzi waliwo omusirikale wa police eyatibbwa munyendo nga alawuna ekitundu. Ebikwekweto bino bikoleddwa mu bitundu bye Mukudde, Kasaana, Market Triangle, byonna ebiri […]
Namungoona-bazze bakondoka
Abantu abakosebwa omuliro ogwakwata eddwaliro lye Mulago bajja bakondoka mpola. Omuvubuka ow’emyaka 17 gyokka abadde apooca n’ebiwundu naye afudde Hassan Nsubuga y’omu ku bantu abaayokebwa omuliro ogwava ku ki loole ekyali kyetisse amafuta, ekyayabika nekituntumuka omuliro e Namungoona ku Northern bypass. Abantu abaasangibwa mu kitundu […]
Egypt efunye pulezident omuggya
Omulamuzi omukulu owa kkooti etaputa ssemateeka mu ggwanga lya Egypt, Adli Mansour, alayiziddwa ng’omukulembeze ow’ekiseera. Kino kiddiridde amaggye okumaamulako abadde akulira eggwanga eryo Mohammed Morsi. Akulira amaggye Gen Abdul Fattah al-Sisi alangiridde nga Morsi bwamaamuddwa mu buyinza. Morsi kino yakiyise kumuwamba nga kikolebwa abajaasi. Gen […]
Namungoona-abakafa bali 42
Omuwendo gwabakafiira mu muliro ogwakwata ekimotoka kyamafuta e namungona gulinye . Okusinziira ku mukungu eyekebejja emirambo mu dwaliro ekulu e mulago Moses Byaruhanga., Abantu abalala 2 bafudde nga kati abaakafa baweze 40. Omu kuba bafudde ye Cristopher senono 23, nga abadde muvuzi wa bodaboda ku […]
Munyagwa akwatiddwa
Meeya w’e Kawempe , Mubarak Munyagwa akwatiddwa. Munyagwa ne banne okukwatibwa, basoose kuvunaanibwa gwa kwenyigira mu kukuba lukiiko lumenya mateeka n’oluvanyuma ne beeyimirirwa. Munyagwa okukwatibwa kiddiridde ekiragiro ky’akulira poliisi mu Kampala, James Ruhweza. Bano basangiddwa ne Dr. Besigye nga bali mu kibinja boolekera kkooti, gye […]
Omuvubuka attiddwa poliisi
Akeediimo k’abagoba ba taxi e jjinja katandise okubijja Omwana omulenzi w’emyaka 16 akubiddwa amasasi agamusse poliisi bw’ebadde yezooba ne ba dereeva bano Omwana ono abadde ku bibye nga ayiga bw amakanika Omusirikale amukubye essasi amaze okukwatibwa. Aba taxi bano bazzeemu okwekalakaas aolunaku lwaleero nga bawakanya […]
300 bayoleddwa mu kikwekweto
Poliisi ekoze ekikwekweto tokowenja okufuuza abbabbi abakutte wansi ne waggulu mu bugwanjuba bw’eggwanga. Abantu abasoba mu 300 beebayoleddwa mu kikwekweto kino nga bano bagyiddwa mu mayumba gaabwe, ‘ebifo ebilala poliisi bw’eyise. Ekikwekweto kino kyetabiddwaamu ne bannamaggye Ebissi ebyenjauwlo bizuuliddwa omuli obwambe, ebiso n’ebilala. […]
Namungoona- Omulala afudde
Omuntu omulala ku balwadde abali mu ddwaliro e Mulago , abaayidde omuliro, afudde. Patrick Sserunkuma afudde olw’ebiwundu ebingi by’abadde nabyo. Ekimotoka ky’amafuta kyayabika ku lwomukaaga oluwedde,oluvanyuma lw’okutomerwa mmotoka endala, nekikwata omuliro opgwayokya enyo abaali balinaayewo saako abagendayo okusema ku mafuta agaali gakulukuta. Kati omuwendo gw’abaakafa […]
Emilimu gisanyaladde mu kibuga
Police efuuyidde amazzi agabalagala okugumbulula abawagizi beyali senkagale wa FDC ne lord mayor wa kamapala SER abeesozze ekizimbe ekimu ku luguudo lwa luwum street. Besigye Ne Lukwago bagenze kusisisnkanamu munamateeeka waabwe Radislas RWakafuuzi ku musango ogubavunaanibwa ogwokukuba olukungaana mungeri emenya amateeka. Besigye ategeezeza nga bweyeewunyizza […]
Col Shaban Bantariza aggaliddwa
Eyali omwogezi w’amaggye g’eggwanga Col Shaban Bantariza asindikiddwa mu kkomera Ono nno yakalondebwa okumyuuka omwogezi w’ekitebe kya gavumentie kya mawulire era nga yeeli akulira ettendekero ly’abakulembeze erya gavumenti Alabiseeko mu maaos g’omumyuka w’akulira kooti y’amaggye Brig Moses Ddiba Ssentongo. Aguddwaako emisnago gy’obukumpanya. […]