Amawulire
Lukwago yewozezzaako
Lord mayor wekibuga kampala kyadaaki yeewozezaako mu kakiiko akawulira okwemulugunya kwabakansala 17 abaagala okumujjamu obwesige. Nga ayita mu banamateeka be aba Ludwig Advocates and Alaka Advocates, Lukwago akuuse ebaluwa nga yeegana ebyo byonna ebimwogetrwako nti byakumusibako matu gambuzi kumuliisa ngo. Agamba ensonga zino ziri […]
Besigye ne poliisi bazzemu
Police ekyaazanya akazanyo jangu nkukwekule neyali senkagale wekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye. Besigye akubya police ekimooni nabatolokaka ewuwe e kasangati olwo nasonga ekibuga , mwebamwekangidde nebatandika okumugoberera. Ku lunaku olwokuna , Besigye yakwatiddwa police bweyabadde asalinkiriza okutuuka mu katale kewa kiseka. Okuva olwo police […]
Abasuubuzi bongedde okutabuka-teri kuggulawo
Abasuubuzi bakugenda mu maaso n’okuggala amaduuka okutuuka olunaku lwa mande Mu lukiiko lwebatuddemu enkya ya leero, abakulembeze b’abasuubuzi bagambye nti gavumenti yabasuubizza ng’abakugu mu misolo bwebagenda kutuula ku lunaku lw abbalaza nga bakubalinda. Abagamba nti era balinze palamenti ky’enasalawo basooke balabe ekiddirira Omwogezi w’abasuubuzi […]
Abavuganya bawera, poliisi ewagadde ebikola
Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikakkono, Moses Kasibante akwatiddwa nga poliisi bw’ekola kyonna ekisoboka okulemesa abavuganya okwekalakaasa Kino kiddiridde ab’ekisinde kya 4GC okuwera nga bwebagenda okwekalakaasa olwaleero okwetoloola eggwnaga lyonna. Kasibante akedde kukwatibwa nga tannava na mu maka ge ate nga n’omubaka Ibrahim Ssemuju […]
Omusota gubozze bebi
Omwana ow’emyezi omukaaga abadde azanyisa omusota n’agussa mu kamwa gumusse Omwana ono abadde atuuziddwa ku kabalaza nga nyina ali mu kwanika ngoye. Omwana ono nyina kimuweddeko okusanga mutabani we ng’agudde eri alambadde ng’omusota gumuli mu kamwa Bino bibadde masaka
Besigye akwatiddwa
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa. Besigye akwatiddwa bw’abadde yakafuluma amaka ge e Kasangati. Poliisi yakedde kwebulungulula maka ge ng’eyyabakulembeddemu Seiko Chemonges yategeezezza nga bw;atagenda kuddamu kukkirizibwa kutambula Besigye bamutwalidde mu kamotoka ka poliisi number UP 1928 nga kati akuumirwa ku poliisi […]
Ab’ekisinde kya 4GC bazzeemu
Ab’ekisinde kya For God and My country balangiridde owkekalakaasa okugenda okubuna eggwanga lyonna olunaku lw’enkya. Okwekalakaasa kuno kuvumirira engereka y’emisolo gyebagamba nti ssiyabwenkanya. Omukwanaganya w’emilimu gy’ekisinde, Mathius Mpuuga, agamba nti okwekalakaasa kuno era mwebagenda okuyita okulaga obuwagizi bwaabwe eri abasuubuzi abali mu kwekalakaasa kko n’abantu […]
Besigye bamusazeeko
Poliisi ezinzeeko amaka g’eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye Abampi n’abawanvu bayiiriddwa ku maka ge nga tekkirizibwa kufuluma. Akulira abakyala mu kibiina kya FDC, Ingrid Turinawe agamba nti Besigye ategeezeddw anga bw’atakkirizibwa kuddamu kuyingira kibuga. Abapoliisi abakulembeddwaamu Seiko Chemonges amakanda bagasimbye mu maka […]
Abasuubuzi baggadde amaduuka
Abasuubuzi mu kibuga wakati baggadde amaduuka Ku nguudo ezisinga, abasuubuzi basazeewo kuyimirira wabweeru w’amaduuka ng’ate akeed i nga Qualicel, Nabukeera Mukwano, miniprice , ne pioneer mall wonna tewali duuka liggule. Ku nguudo nga Luwum, Market ne Kikuubo awakubako abantu, kiwuubalo ng’abantu batono ddala. Abasuubuzi bano […]
Mulindwa tadda mu mupiira
Amawulire agava ku FUFA e Mengo galaga nti akulira ekibiina ky’omupiira kino Lawrence Mulindwa tagenda kwesimbawo mu kulonda okw’okukyuusa obukulembeze okusuubirwa okubaawo nga 31 omwezi gw’omunaana. Mulindwa eyajja mu bukulembeze w’omupiira mu mwaka gwa 2004 ategeezezza bino eri olukiiko olufuzi mu kafubo akatudde ku FUfa […]