Amawulire
Omulwadde abadde yesse
Omulwadde omulala abadde agezaako okubuuka okuva waggulu e Mulago ataasiddwa Andrew Okembo abadde abuuka okuva ku mwaliro ogw’okusatu oluvanyuma lw’okumanya nti mutabani we atunze ente ye. Mukyala we Liyada Nabirye agamba nti bba baamukuba katayimbwa e Kamuli Kireka era nga bba yakozesezza akakisa kano […]
Abazirwanako basaaye ekitoogo
Abazirwanako bazinze ekitoogo kye Lubigi nebakisaawa. Wabula poliisi tebakkirizza kumaliririza kugabana midaala bw’ebakubyeemu omukka ogubalagala nebabuna emiwabo. Nga babagalidde amajambiya n’enso, abantu bano abali mu kikumi balumbye ekitoogo kino ekiri e Namungoona nebasaawa buli kimu era nga poliisi ebadde tennatuuka mu kitundu kino. Abazirwanako bano […]
Besigye asonze ekibuga, Lukwago akyatubidde
Kyadaaki eyali akulira ekibiina kya FDc Dr Kiiza Besigye asonze ekibuga. Poliisi yakedde kusalako maka ge okumulemesa okufuluma kyokka nga oluvanyuma lw’okwogera naye basazeewo nebamuleka AKulira poliisi y’obukiikaddyom Samuel Omala ategeezezza nga Besigye bwebamugaanye okufuluma mu mmotoka mbu atambuza bigere era bw’atyo n’afuluma Wabula ate […]
Obuganda buli mu kukungubaga,Olukiiko lutudde
Obuganda buli mu kukungubagira maama wa kabaka, Namasole Rebecca Musoke Zirimbuga eyafa ssabiiti ewedde Bendera ku ofiisi za Buganda zonna zeewuubira wakati ng’akabonero akalaga okukungubaga Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi agamba nti omugenzi wakusabirwa ku lutikko e Namirembe ku ssaawa mwenda olunaku lwaleero . […]
Besigye mukwatte, Kisekka agaddwa
Eyali akulira ekibiina kya FDC, Dr. Kiiza Besigye, akwatiddwa poliisi. Bamusanze mu kikuubo nga kigambibwa nti abadde asalinkiriza agenda mu katale k’ewa Kisekka, ayogerere mu basuubuzi. Akulira poliisi mu Kampala James Ruhweza agamba nti Besigye atwaliddwa ku kitebe kya poliisi mu Kampala gy’akuumirwa kati. Ko […]
Ssalongo Lukwago azirise
Loodi Mayor Salongo Erias Lukwago azirise amangu dala nga yaakalabikako maaso ga kakiiko ka KCCA akabadde kalina okutandika okumusoya ebibuuzo ku kwemulugunya kwaba kansala 17 abeemulugunya, nga baagala okumujamu obwesige. Abaserikale baabukeerezza nkokola kwebungulula makaage e Wakaliga mu divisoni y’e Rubaga ne bamuziyiza okuvaayo nga […]
Omusajja omulala yesse e Mulago
Omusajja omulala yeekasuse okuva ku mwaaliriro ogwokuna ku dwaliro e Mulago neyekata wansi nafiirawo. Omugenzi ategeerekese nga nga Kenneth Muhumuza nga abadde atawanyizibwa ekirwadde kyomutima yeenyiye naabuka okuva ku mwaliriro ogwokuna paka ku taka. Muganda womugenzi ategeerekese nga Baguma Muhumuza agamba omugenzi ono yasoose kwegezamu […]
Musumba Alya Butaala
Kooti yokuntiko muggwanga lya buyindi yejeerezza eyali minister omubeezi owensonga zebweru weggwanga Isaac Musumba. Musumba nomubaka wa Igara eyobuvanjuba Michael Mawanda Maranga baakwatibwa mu mweezi gwokuna omwaaka guno ku bigambibwa nti baali bakozesa olukujukuju okujja obukadde bwa doola 20 okuva ku […]
Museveni Anenyezza Abebisolo
President Yoweri Museveni aneneyezza ab’ekitongole ekijanjaba ebisolo mu ministry y’ebyobulimi , olw’okulemererwa okuziyiza enddwadde ezisasaana mu bisolo. Mu lukungaana lw’abavunaanyizibwa okulwanyisa enkwa, President agambye nti enddwadde z’ebisolo zikyatta nyo ente ate nga kino kyavuwaza abalimi. Agambye nti abajanjabi b’ebisolo mu zi District be bateekeddwa […]
Lord Mayor Erias Lukwago Akwatiddwa
Meeya wa Kampala Elias Lukwago ajja kulwawo nga yekunkumula eby’obufuzi. Poliisi emukutte era wowulirira bino nga atemeza mabega wa mitayimbwa ku kitebe kya poliisi ju Kampala. Abadde agenze mu paaka ya takisi enkadde okwekebejja embeera nga bweri oluvanyuma lw’ekikwekweto kya KCCA ekifuuza […]