Bya Prossy Kisakye,
Yaffeesi ya kaliisoliiso wa gavumenti etandise kuntekateeka eyokuvunaana abakozi ba gavt ne bannabyabufuzi abagaanye okwanja ebyobugagga byabwe omwaka guno okusinzira ku tteeka nga bweriragira.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, amyuka kaliisoliiso wa gavt, Mariam Wangadya agambye nti abakulembeze ebitundu 83.11% bebasobodde okwanja ebyobugagga byabwe wenatukidde ennaku zomwei 23rd omwezi guno.
Ate abalala 4222 balemeredwa…
Bya Damali Mukhaye,
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ake byenjigiriza bakunyiza minisita owe byenjigiriza ebyawaggulu, John Chrysostom Muyingo anyonyole ku bayizi bannauganda abesoga eggwanga erya Kenya okusomerayo songa eggwanga eryo liri bubi mu mbeera ye kirwadde kya covid-19
Omubaka we kibuga kya Busia Municipality Godfrey Macho, agambye nti baasi za Kenya 11 zinona abayizi ba nasale…
Bya Juliet Nalwooga
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Tanyadel mu disitulikiti ye Moroto, abalwanyi aba-Karamaja bwebalumbye ekitundu nebakuba amasasi mu bantu nebatta aomulenzi owemyaka 6 nebakuliita nente 1000.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kyamaserengeta ga Karamoja Michael Longole agambye nti ababbi bente bano basse Korobe Apangoria nga waliwo nabantu abalala 3 abalumiziddwa okuli Lolem Loguti, Lochap Paul…
Bya Prosy Kisakye
Minisita owensonga z’omunda mu gwanga Gen. Jeje Odongo alagiddwa palamenti, a;leete alipoota enyonyola kungeri gavumenti bwegenda okuyamba nokuliyirirra abantu abakosebwa mu bwegugungo, bwa Novemba 18 ne 19 omwaka oguwedde.
Omukulembeze we’gwanga yasubiza nti gavumenti yakuliyirirra famile zabantu abafiirwa abaabwe, wabula nga batibwa mu butanwa nga baali tebekalakaasa.
Palamenti okuvaayo okulagira kyadirirdde okwemulugunya okwaleteddwa omubaka we…
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala, Musa Ssekaana alagidde abebyokwerinda, awatali kulemererwa okuleeta omulambo gwa munnaanis we’gwanga lya America Guy Milton Smith eyabula.
Omulamuzi alagidde nti batekeddwa okukola kino nga 4 May 2021.
Kino kyadiridde Ssabawolereza wa gavumenti okulemererwa okunyonyola ku mayitire gomusajja ono, songa aba famile ye balumiriza nti yatwalibwa abebyokwerinda.
Aba famile nga bakulembeddwamu…
Bya Rita Kemigisa,
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde minisita owensonga ezomunda mu ggwanga okuvaayo ku lwokubiri lwa ssabiiti ejja atangaze eggwanga kunsonga ya maggye ga Uganda agali mu Somalia.
Kino kidiridde omubaka wa Obongi county Kaps Fungaroo okutegeeza palamenti nti embeera eri mu Somalia sinyangu mu kiseera kino oluvanyuma lwa maggye agawagira aboludda oluvuganya okugulawo olutalo…
Bya Prossy Kisakye,
Abavubuka ba Democratic Party aba UYD, batadde eggye lye ggwanga erya UPDF kunninga linyonyole bannauganda ebifo nábantu bennyini abali emabega wokusasanya ebipande okuli obubaka obugenderera okutataganya okulayira kwa pulezidenti Museveni.
Omwogezi weggye lye ggwanga erya UPDF Brigadier Gen. Flavia Byekwaso olunaku lweggulo yabuulidde bannamawulire nti bagudde mu lukwe lwe kibinja ky’abantu abategese okutataganya okulayira…
Bya Musasi Waffe
Abasajja mu disitulikiti ye Masindi balajanidde wofiisi evunayizibwa ku nsonga zamaka ku disitulikiti, okubataasa ku bakyala baabwe abasusse okubakuba.
Annette Karamagi akulira ensonga zamaka e Masindi agambye nti afunye okwemulugunya okuwerako kuva mu basajja ku nsonga eno.
Agambye nti ku ntandikwa yomwaka guno, mu kubala okwangu yafunga omusango guno buli lunnaku wabulanga abasajja abasinga balina…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munisipaali ye Lugazi omulonde Stephen Sserubula Kinaalwa avuddeyo okwemulugunya ku ntekateeka ya gavumenti okwewaola okusobola okuzaawo ebibira mu gwanga
Minisita avunayizbwa ku kutegekera egwanga David Bahati wiiki ewedde yatekayo okusba eri palamenti bewole obuwumbi 286, okusobola okuzaawo ebibira ebisanyiziddwawo.
Wabula Sserubula agambye nti okwewola tekwetagisa, naye amaanyi getaaga okutreeka mu ntekateeka zokukunga abantu,…
Bya Musasi Waffe
Poliisi yabazinya mwoto, wetwogerera nga bakyalwanagana nomuliro nabbambula, ogukedde okukwata okutuntumuka ku ssomero lya Kings College Buddo Secondary School mu disitulikiti ye Wakiso.
Omuliro guno gukutte ku kizimbe okuli ebisulo byabayizi, aba S3 ne S1 nga kitegezeddwa nti gutandise mu budde bwokumakya ku ssaawa 1 eyokumaliiri.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano…