Bya Ritah Kemigisa
Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga azeeemu okuvumirirra ekiwamba, nekitta bantu, ebigenda mu maaso mu gwanga.
Bwabadde awa obubaka bwe mu kusaba aokufundikidde ekubo lyomusalaba, okwategekeddwa ekibiina ekigatta enzikiriza ekya Uganda Joint Christian Council, Ssabasumba agambye nti ekikolwa kino ssi kyabwakatonda.
Ayogedde ku kiwamba abantu nokubabuzaawo, nga kikolebwa abakuuma ddembe ate nayogera…
Bya Ruth Anderah
Eyawangula minisita owebyenjigiriza ebya waggulu mu John C. Muyingo mu kalulu, e Bamunanika ataddeyo okwewozaako kwe, ku musango gwebyokulonda gwebamugulako.
Robert Ssekitoleeko, omubaka omulonde owe Bamunanika bamuwawabira nakakiiko kebyokulonda ng’omulonzi Christopher Mafabi yeyaddukira mu kooti.
Ono alumiriza nti okulonda kwalimu okubba akalulu, okugulirirra abalonzi nebikolwa ebirala bingi ebiemenya amateeka.
Ssekitoleeko eyakwatira ekibiina kya National Unity Platform…
Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kyebyenguudo mu gwanga, Uganda national roads authority bawabudde abantu bakoseza oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, okukozesa enguudo endala ezisoboka, okuyita e Mpigi-Kanoni-Sembabule okutuuka e Villa Maria/Masaka.
Mu kiwandiiko kyebafulumizza, bagambye nti bakyetaaga akadde okutereza n’okudabiriza ekitundu ku luguudo liuno mu Lwera, ekyayononese awaserera.
Ekitundu ku luguudo luno e Kamuwunga, kibadde kyaguddemu.
Eno abatambuze…
Bya Ritah Kemigisa
Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa akawungeezi akayise, alangiridde nti alekulidde, nga Supreme Mufti wa Uganda, ekiwayi ekituula e Kibuli.
Bwabadde ayogerako ne bannamwulire e Bulange, Sheikh Ndirangwa okulekulira kwe akwesigamizza ku ntalo ne bakulembeze banne, ezimusukiriddeko.
Agambye nti emirundi mingi, kigotaanyiza nemirimu gye.
Wabula yebazizza bonna bakoze nabo mu bbanga lino, okuli ba kadhi, ba imams okwetoloola…
Bya Musasi waffe
Ba accounting Wofiisa, 165 bayite abavunayizibwa ku nsasanya yensimbi mu bitongole bya gavumenti, balangiriddewa nti tebaosbola mirimu, era babasudde ettale.
Bano abamu bawandiisi bankalaklaira mu minisitule ezenjawulo, atanega abalala bamu zzi gavumenti ezebitundu.
Bano balemererwa okunyonyola ku kwwmulugunya okwenjawulo, mu mbalirirra yebitabo, nengeri gyebasasanyameu ssenye za gavumenti mu mirimu egyenjawulo.
Amannya gaabwe gajidde mu lukalala, minisita…
Bya Moses Ndaye,
Sipiika wa palamenti nómumyukawe tebayitiddwa okwetaba mu tabamiruka w;ekibiina kya NRM agenda okubaawo e Kyankwanzi.
Okusinzira ku director akulira ebyokukunga mu kibiina kya NRM, Mathis Kasamba, ekibiina kisazeewo ababaka bonna abali mu palamenti obutetaba mu lusirika luno
atangaziza nti olusirika lwa kwetabwamu ababaka ba palamenti abalonde 200 abagenda okukiika mu palamenti eyomulundi ogwe 11 ne…
Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda bufulumiza enteekateeka entongole egenda okugobererwa wakati mukuteekateeka emikolo gy’amazalibwa g’empologoma eg’emyaka 66 ag’okuberawo nga 13 omwezi guno ogw’okuuna mu Lubiri e Mengo.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amazalibwa gano era nga ye minister w’ebyobulamu, ebyenjigiri, office ya Nabagereka n’ekikula ky’abantu, Owek Prosperous Nankindu Kavuma, yafulumiza enteekateeka eno mu kulungana lwa bannamawulire olutudde ku…
Bya Abubaker Kirunda
Laddu ekubye abantu 2 nebatta, mu disitulikiti ye Kamuli.
Abagenzi kuliko omukazi ategerekse nga Nabirye owemyaka 22 nomulala Deborah owemyaka 24 nga babadde batuuze ku kyalo Bukutu mu gombolola ye Bulopa e Kamuli district.
Kansala wekitundu kino ku lukiiko lwa disitulikiti Moses Muwangala agambye nti binoi okuberawo, abagenzi babadde begamye nkuba.
Muwangala agambye nti abakyala bano,…
Bya Ivan Ssenabulya
Abantu be Kyaggwe bajjukidde nokusiima emirimu egyakolebwa eyali Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo.
Kigongo, Mukama yamujulula nga 31 mu March w’omwaka oguwedde, egwanga bweryali mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Omugenzi yagwa ku kkubo, abadduukirize bagezaako okumutaasa, wabula nassa ogwenkomerero nga yakatusibwa ku ddwaliro.
Mu kusabira omugenzi, okubadde ku St Andrews and Philip e Mukono, abentu ebnajwulo bogedde…
Bya Benjamin Jumbe
Alipoota ekwata ku ddembe lyabannamwulire eyomwaka 2020 eraze nti wabaddewo okweyongera mu bikolwa ebityoboola, eddembe lyamawulire mu gwanga.
Bwabadde afulumya alipoota eno, ssenkulu wekitongole ekirera eddembe lyabanamwulire Human Rights Network for Journalists Robert Ssempala agambye nti bafuna emisango 174 omwaka oguwedde, nge gyekuusa ku kutulugunya nokuyisa obubi bannamawulire.
Agambye nti wabaddewo okweyongera okuva ku misango…