Bya Damalie Mukhaye
Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Rakai, Juliet Kinyamatama, alangiridde nga bweyegasse ku bavuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti empya eyomulundi ogwe 11.
Kati abavuganya ku kifo kino baweze 5, okuli Rebecca Kadaga, omumyuka we Jacob Oulanya nga bombi ba NRM.
Abalala kuliko owa FDC Ibrahim Ssemujju nowa DP Richard Sebamala.
Bwabadde atongoza kampeyini ze ku…
Bya Ritah Kemigisa
Ku mulirwano mu gwanga lya Rwanda batandisae ebikujjuko ebyomulundi ogwa 27, okujjukira ennaku 100 ezekitta abantu ekyali mu gwanga lino.
Ebikkujjuko bino biberamu owefumintiriza ku byaliwo okuva nga 7 April ne 15 July mu mwaka gw 1994, bwebagwamu olutalo olwomunda, olwenjawukana mu mawanga.
Abantu abali mu kakadde kalamba, ngokusinga ba Tusti naba Hutu abatonotono, bebatibwa…
Bya Basasi Baffe
Ku lutikko e Lubaga, ketalo wakati mu ntekateeka zokuziika abadde Ssabasumba we’ssaza erye Kampala Dr. Cyprian K. Lwanga.
Kitegezeddwa nti Dr. Lwanga bagenda kumuziika munda mu lutikko, wakati wamalaalo gabaali abawereza Dr. Joseph Kiwanuka ne Bishop Edward Michaud.
Abekitongole kya Uganda Funeral Services bebali mu ntekateeka.
George William Katende, omuwereza ku lutikko e Rubaga ategezezza banaffe…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti egobye okusaba kwéyavuganya kubukulembeze bweggwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu mweyali ayagalira kkooti eragire ekitongole ekiwooza ekya URA obutekebeja motokaye egambibwa okuba nti teyitamu masasi.
Kino kidiridde kkooti enkulu wansi womulamuzi Emmanuel Baguma okutegeeza nti ye takirabamu buzibu kyagulanyi okutwala motokaye eye kika kya Land Cruiser eri aba URA okugyetegereza ebigikwatako.
Kuntandikwa yomwezi oguwedde Kyagulanyi yadukira mu…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kisabye gavumenti etekewo ebijjukizo ebikwata kwabadde ssabasumba we ssaza ekkulu erya kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyavudde mu bulamu bwensi eno ku lwobuwereza bwe obulungi eri eggwanga.
Ssabasumba Lwanga yassa ogwenkomerero ku lwomukaaga lwa ssabiiti ewedde yafiira mu buriri bwe.
Okusinzira ku alipoota ya basawo yafudde kirwadde kya mutima emisiwa…
Bya Prossy Kisakye,
Eyavuganya kuntebbe eyomuk weggwanga era nga senkagale we kibiina kye byobufuzi ekya FDC Patrick Oboi Amuriat anenyeza palamenti olwobutabaako kyekola ku bantu abafiira mu kulonda okwakagwa mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo
Bino abyogedde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku ddembe lyobuntu okuwa ebintu nga bye yabilaba bitambula mu kulonda okwaliwo nga 14th January
Ono…
Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ayongedde okubanj, ebyokudibwamu ku nfa, yabadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga.
Bwabadde ayogerera mu kusaba okwenjawulo okwategekeddwa gavumenti ku kisaawe e Kololo, Museveni agambye nti okusinziira ku alaipoota eyawereddwa, ebyase Ssabasumba byabadde bisoboka okwewalika.
Dr Andrew Ssekitoleko, omusawo wessaza, eranga yabadde omusawo…
Bya Damalie Mukhaye
Obukulembeze bwabasubuzi bann-Uganda abakolera mu gwanga lya South Sudan basabye gavumenti, nti yandibadde ewere ekyokutambula okugenda mu gwanga linoi, olwobutali butebenkevu obuli mu gwanga eryo.
Bino webijidde nga waliwo obulumbaganyi bwamirundi 3, obwakaberawo omufiridde bann-Uganda abawerako mu South Sudan.
Ssentebbe owa Joint Action for Redemption of Ugandan Traders in Sudan, ekibiina ekigatta banna-Uganda mu gwanga…
Bya Ndhaye Moses
Kkerezia-Katulika mu Uganda bakyagenda mu maaso nokukungubagira, abadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Olunnaku lwe ggulo kkerezia yafulumizza alaipoota ekwata ku kufa kwe, nga kyategezeddwa nti yafa oluvanyuma lwomusaayi okutuyira.
Ono baamusanga yafirirdde mu kisenge kye ku lunnaku Lwomukaaga, nga yafirirdde ku myaka 68.
Kati olwaleero wategekeddwawo okusaba okwenjawulo ku butaka e…
Bya Ivan Ssenabulya
Entekateeka z’okuziika n’okukungubagira, abadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala zigenda kutandika olwaleero.
Dr Cyprian Kizito Lwanga okufa kwe kwalangirirddwa ku lunnaku Lwomukaaga, chansala wessaza lino, Fr Pius Male Ssentumbwe oluvanyuma lw’okumusanga nga yafiridde mu kisenge kye.
Okusinziira ku Vicar General we ssaza, Monsignor Charles Kasibante, olwaleero wategekeddwawo mmisa eyenjawulo ku lutikko e Rubaga ku ssaawa…