Bya Malik Fahad,
Obunkenke bubaluseewo mu disitulikiti yé Masaka oluvanyuma lwokufuna abalwadde ba covid-19 7 mu bbanga lya nnaku 2 zokka
Mu kwogerako ne bannamawulire ku ddwaliro ekkulu e Masaka, akulira ebyóbulamu mu disitulikiti eno Dr. Faith Nakiyimba agambye nti amawulire gano gabakubye enkyukwe wabula nga kati balina kwegendereza nyo
Nakiyimba abagamba nti abalwadde bonna bateredwa mu busenge…
Man with a rope tied his hands
Bya Magembe Ssabiiti,
Abatuuze b’e Nsengwe mu ggombolora ey’e Kitenga mu district y’e Mubende balaajanidde poliisi ye Mubende ebayambeko okuzuula omuntu waabwe eyabula kati emyezi ebiri.
Kigambibwa nti nga 12th omwezi oguwedde Kisembo Godfrey nga mukulu wa ssomero erya Kisiita Primary School e Kasambya lweyava awaka kyokka yasemba okulabikako ku kitebe kya…
Bya Damlie Mukhaye
Abakozi abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti aga waggulu balabudde okuteeka wansi ebikola okutandika nga 19th March 2021 nga babanja gavumenti enyongereza ku misaala gyabwe.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa nga 11 March eri minisita webyenjigiriza nemoizannyo Janet Museveni, ssentebbe wekibiina ekigatta abakozi bano, Jackson Betihamah agambye nti mbalirira ya 2020/21 tebabogenza nga gavumenti bweyali…
Bya Ritah Kemigisa
Minisita webyokwerinda bye gwanga Gen Elly Tumwine abalabudde abavuganya gavumenti abekibiina kya NUP, obutagezaako okugeteka okwekalakaasa kwebayise eokwemirembe.
Agambye nti buno butabanguko na bwegugungo, babusiize akazigo nti kwekalakaasa okwemirembe.
Akulmbera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi yadumidde okwekalakasaa kuno, okuwakanya obukulembeze bwa Yoweri Museveni owa NRM.
Kyagulanyi agamba nti obuwnaguzi bwe mu kulonda kwa bonna okwaliwo nga…
Bya Shamim Nateebwa
Omusajja gwebakwatidde mu bubbi, yefumise ekiso mu lubuto, ngatya abantu babulijjo okumukuba okumumiza omusu.
Joseph Mwanje owemyaka 30 kyadirirdde okumusanga lubona mu nnyumba yomukazi, nga yefulukuta agezaako okubba.
Kati awereddwa ekitanda ku ddwaliro lya Mum’s go hospital nga kigambibwa nti ono baali bamukwatidde Maganjo mu Wakiso.
Mwanje agambye nti yli amaze ebbanga, ngalondoola omukazi ono era…
Bya Benjamin Jumbe
David Awili, owemyaka 47 bnga mutuuze we Angwee, mu distuliiti ye Abim bamusindise mu nkomyo yebakayo emyaka 20 oba okuwa engasi ya bukadde 12 oluvanyuma lwemisango gyokusangibwa namasanga.
Ono bamusanga namasanga genjovu, Kiro 41 nokusoba.
Omulamuzi, akulira kooti ewozesa emsango gyobutonde bwomu ttale negyempuliziganya Ayo Mariam Okello ku Buganda road, yamusingisizza emisango.
Oludda oluwaabi okuva mu…
Bya Barbra Nalweyiso
Poliisi e Mityana ekutte abantu 4, nga bekuusa ku butemu obwakoleddwa ku Florence Babirye owemyaka 38 omutuuze we Namatunku mu gombolola ye Manyi.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Rachel Kawala, obutemu buno bwaliwo mu kiro Kyolwokusattu abatamanya ngamba bwebasobya ku mukazi ono, oluvanyuma nebamutuga nebamutta.
Agambye nti poliisi yatuuse mu kifo awabadde…
Bya Ritah Kemigisa
Akakiiko ka palamenti akakasa abantu abalondeddwa omukiulembeze we gwanga ku bifo, aka Parliament's Appointments Committee nga kakubirizibwa ssentebbe waako Rebecca Kadaga, olwaleero kagenda kutuula okukakasa gavana wa Bank ye gwanga enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ku kisanja ekiralala.
Abalala abagenda okweyanjula eri akakiiko ye ssabapoliisi, Martin Okoth Ochola nga naye yazeemu nalondebwa.
Mutebile yalondeddwa okusigala mu…
Bya Benjamin Jumbe,
Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti era eyavuganya kubwa pulezidenti ku kaada ya NUP Robert Kyagulanyi asabye palamenti eragire abakuuma ddembe okuyimbula bannauganda bonna abawambibwa kunsonga eze byobufuzi.
Mu kwogerako eri palamenti akawungeezi ka leero, Kyagulanyi alaze obwenyamivu olwebikolwa ebyokuwamba abantu nokubatulugunya ebigenda mu maaso mu ggwanga.
Kyagulanyi agambye nti nólunaku lweggulo waliwo abantu 2…
Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda busabye abakulembeze bonna abalondedwa ku bifo ebyenjawulo mu kulonda kwa bonna okwakakomekerezebwa, obutava ku miramwa egyabalondesa, kuba abantu ababalonze era betegefu okubasuula mu kulonda okunaddako.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasibiridde abanakulembeze entanda eno bwabadde asisinkanyemu abakulembeze b’egombolola ye Lubaga abakalondebwa abakulembedwamu meeya omugya Zaki Mawula Mberaze wano…