Kikakasiddwa nga bana Uganda 1.3 bwebafuweeta oba okukozesa taaba.
Alippota empya eraga nti bana Uganda 8 ku 10 bakozesa ebintu ebiva mu taaba.
Okunonyereza kuno okwakolebwa mu mwezi gwa November era nti abasajja 11% banywa taaba ate abakyala 4.6% nabo bakozeza taaba.
Akulira okunonyereza mu kitongole kya Uganda Bureau of statistic eyafulumiza okunonyereza kuno Steven Baryahirwa agambye nti okunonyerza kulaze nti abakyala bebasinga okukosebwa obulabe obuva ku bantu abalala abafuweeta taaba.
Baryahirwa agambye abantu emitwalo 50 ababeera mu bifo ewakolebwa taaba bebakoseddwa eddwadde eziva ku taaba.
Ye minister akola ku byobujanjabi ebisookerwako Sarah Opendi agamba nti yadde wabaddewo okuseetuka, tewali miwendo mirambulukufu ku bibi ebiva ku taaba eri abamunywa