Skip to content Skip to footer

Ab’owino balwana

Owino Market

Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe basula emitima gibewanise  ngabalumiriza nti waliwo ababatiisatiisa okubatta

Bano nga bakulembeddwaamu ssentebe w’abasuubuzi Joseph Lwanga bagamba nti bano baamaze dda okubalumbako nga bagaala kulumba ofiisi zaabwe

Bino byonna bisibuka ku mpooza KCCA gyeyawera kyokka abakulembeze ba SLOA nebagiremezaawo

Wabula yye omwogezi wa SLOA, Wilberforce Mubiri bino abiwakanyizza era nga aboogera bino abayise babbi abagaala okwezza akatale ka St Balikuddembe.

Leave a comment

0.0/5