Skip to content Skip to footer

Ente esobeddwa

cow stuck

Abaddukirize bayitibwa okutaasa engeri ezitali zimu.

Abamu bayitibwa kutaasa kappa, mmese n’ebilala naye nga ku luno abaddukirize bano bayitiddwa kutaasa nte eyingizza omutwe mu kituli ekili ku muti negulaalirayo.

 

Ente eno yabadde egezaako kukunukkiriza muddo ogwabadde wakati w’emiti ebiri okuva ku lunaku lwa bbalaza

 

Abaddukirize bano batobye nga bakola buli kimu nga kigaanye okutuusa lwebasazeewo okusitula ente eno nga bwebagiwanika okutuusa omutwe bwwgeuvuddeyo nebagissa wansi

 

Ente eno ekirungi nti egenze okununulwa nga telina nnyo bisago ku bulago bwaayo.

Leave a comment

0.0/5