Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga kye Mbale oluvanyuma lw’abatujju aba Al shabab okuwera okulumba ebitebbe bya gavumenti mu kitundu kino.
Kino kyadiridde omukuku gwe bbaluwa omwabadde obubaka buno obwokutisatiisa eri ekitebbe kya poliisi e Mbale ku CPS eyaleteddwa abantu abtanategeerekaeka.
Omudumizi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Francis Chemusto, ategezezza ngebbaluwa eno bwesubirwa okuba nti yaleteddwa bakambwe aba…
