Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga kye Mbale oluvanyuma lw’abatujju aba Al shabab okuwera okulumba ebitebbe bya gavumenti mu kitundu kino.
Kino kyadiridde omukuku gwe bbaluwa omwabadde obubaka buno obwokutisatiisa eri ekitebbe kya poliisi e Mbale ku CPS eyaleteddwa abantu abtanategeerekaeka.
Omudumizi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Francis Chemusto, ategezezza ngebbaluwa eno bwesubirwa okuba nti yaleteddwa bakambwe aba Al-shabab nga besomye okukuba egwanga awabi mu kibuga kye Mbale.
Ono ategezezza nti okusinziira ku bbaluwa abakambwe babadde bamaze dda okusisira mu kibuga.
Kati poliisi bwebadde esisinkanye abakwatibwako abebyokwerinda, basabye abantu babulijjo okuba abegendereza batunule nkaliriza ate baloope byonna byebekengera.