Wabaddewo katembe ku kitebe kya poliisi e Soroti oluvanyuma lw’abenganda z’omuvubuka eyakubiddwa poliisi amasasi n’afa okusitula omulambo gwe nebagusulira poliisi.
Bano becwacwanye nga balumiriza poliisi okubattira omwana waabwe
Wabula olutuuse ku poliisi bano era basoose kukaayana ku wa webalina okusuula omulambo guno nga abamu baagala kuguteeka ku mmeza ewatuukira abantu wabula abamu nga baagala gutwalibwe mu ggwanika…
