Wabaddewo katembe ku kitebe kya poliisi e Soroti oluvanyuma lw’abenganda z’omuvubuka eyakubiddwa poliisi amasasi n’afa okusitula omulambo gwe nebagusulira poliisi.
Bano becwacwanye nga balumiriza poliisi okubattira omwana waabwe
Wabula olutuuse ku poliisi bano era basoose kukaayana ku wa webalina okusuula omulambo guno nga abamu baagala kuguteeka ku mmeza ewatuukira abantu wabula abamu nga baagala gutwalibwe mu ggwanika ly’eddwaliro.
Mukulu w’omugenzi Catherine Arao asabye poliisi ebawe alipoota eyavudde mu kukebera omulambo gw’omugenzi basobola okuvunaana abaserikale abasse omuntu waabwe.
Mukyala Arao agamba poliisi eriwo kukuuma bantu sso ssi, kubatirimbula nga era ab’e Soroti basusse okutta abaana baabwe.
Omugenzi Paul Olado y’akubwa amasasi mu mugongo bweyali atudde ku bodaboda ne muganziwe ku lwokutaano oluwedde ku ssaawa nga 5 ezekiro.