Ate mumalala Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza nti ekiviriddeko okukeerewa okumaliriza okuddamu okuzimba amasiro g’e Kasubi kivudde bulombolombo obulina okugobererwa.
Mu lukiiko olubadde wali e Bulange Mengo, Katikiro ategezezza nti eby’obuwangwa byonna bwebirina okugobererwa, kale nga balina kubikwata mpola.
Katikiri era yenyamidde olw’abantu abagenda mu maaso n’okuvumirira emirimu egigendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko gamba nga…
