Ate mumalala Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza nti ekiviriddeko okukeerewa okumaliriza okuddamu okuzimba amasiro g’e Kasubi kivudde bulombolombo obulina okugobererwa.
Mu lukiiko olubadde wali e Bulange Mengo, Katikiro ategezezza nti eby’obuwangwa byonna bwebirina okugobererwa, kale nga balina kubikwata mpola.
Katikiri era yenyamidde olw’abantu abagenda mu maaso n’okuvumirira emirimu egigendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko gamba nga okusonda ettoffaali.
Mungeri yeemu Obwakabaka bwa Buganda bulayizza omubaka waabwo mu mawanga okuli Bungereza ne Northern Ireland.
Ronald Lutaaya y’alayiziddwa mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso wali e Bulange Mengo.
Emikolo gy’okulayiza Lutaaya gikulembeddwamu omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda ow’ekitiibwa Nelson Kawalya .