Skip to content Skip to footer

Ababaka ba Palamenti babalangidde omululu

Peter WanderaAbalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga bavumiridde eky’ababaka ba parliament okusaba bongezebwe ku nsako yaabwe.

Akulira ekibiina kya  Transparency International Peter Wandera agamba ababaka bano baalaze omululu bwebataddewo ensako endala okuli okuweebwa obukadde 2 ez’ekyemisana n’ekyenkya buli mwezi nga kwogasse n’obukadde 3 ez’enyumba.

Agamba omugugu gwonna gweyongera eri mu muwi wa musolo, kale nga ekyamangu okutangira kino kirina okukolebwa.

Mu kiseera kino omubaka wa palamenti asasulwa obukadde 25 buli mwezi ,kale nga Wandera agamba zimala bw’ogerageranya n’omuwendo gw’ababaka abali mu palamenti nga kuluno ey’ekkumi yakubeeramu abasukka mu 400.

Leave a comment

0.0/5