Abantu ab’enjawulo okuli bannabyamizanyo, bannabyabufuzi n’abalala batenderezza nyo omugenzi Abel Dhaira eyali omukwasi wa goel ya uganda crane olw’ebilungi by’akoledde eggwanga .
Bino byogedwa abantu eb’enjawulo a beetabye mu misa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi wali ku Kanisa ya All saints e Nakasero.
Mumisa eno omutendesi wa Uganda Cranes Micho ategezezza nga Dhaira buli kiseera bw’alisigala mu mitima gyabannayunga olwemirimo gyeyakola nga akyali mulamu.
Ate ye akulembera ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA Moses Magogo, omugenzi amumenye nga omuntu abadde omukugu mu mulimu gwe ogw’okusamba omupiira .
Ono agambye nti omugenzi olumu baamuyita okusamba mu ttiimu y’abali wansi w’emyaka 21, wabula nga omukugu n’abategeeza nga bweyagisukka edda ekitali kyangu eri abazanyi abalala.
Mungeri yeemu loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago asabye watekebwewo ensawo enayamba okujanjaba abalina obulwadde bwa kkookolo mu uganda.
Ategezezza nti kikwasa ensonyi okutwala bannayuganda ebweru okubajanjaba kookokolo sso nga wasobola okubaawo ekikolebwa okulwanyisa obulwadde buno.
Kinajukirwa nti Dhaira ono y’afa obulwadde bwa kookolo mu ggwanga lya Iceland gy’abadde azanyira ogwensimbinga era nga oluva wano wakutwalibwa mu kisaawe kye Nakivubo .