Bannamateeka b’abamu ku bavunanaibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu balumirizza ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura okutiisatiisa abantu baabwe okwelumiriza nti ddala bebatta abakulembeze b’abayisiraamu.
Twaha Mayanja ga y’omu ku bawolereza abavunaanwa ategezezza nga abantu be okuli Ismeal Ssentongo,yusuf Kakande ne Isa Musa bwebazze batwalibwa mu bifo ebyekusifu mu kkomera e Luzira nebabalagira okuwaayo munaabwe akulira abatabuliiki ku muzikiti…