File Photo: Nabagereka nga awa Kabaka cake
Abantu ba Ssabasajja Kabaka wa Buganda abawangalira ku bizinga bwe Ssese bali mu keetalo nga balindirira omutanda.
Ssabasajja asuubirwa okusitula olunaku lw’okutaano okwolekera Ssesse ku mikolo gy’okukuza amatikkira ag’omulundi gwa 22.
Akulembeddemu okutegeka amatikkira gano era nga ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza Dr. Twaha Kawaase agambye nti ebikujjuko byonna byakutandika n’omupiira…
