
Abantu ba Ssabasajja Kabaka wa Buganda abawangalira ku bizinga bwe Ssese bali mu keetalo nga balindirira omutanda.
Ssabasajja asuubirwa okusitula olunaku lw’okutaano okwolekera Ssesse ku mikolo gy’okukuza amatikkira ag’omulundi gwa 22.
Akulembeddemu okutegeka amatikkira gano era nga ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza Dr. Twaha Kawaase agambye nti ebikujjuko byonna byakutandika n’omupiira wakati w’essaza kye Ssingo ne Ssese nga guno guli ku mutendera gwa kwota fayino.
Emikolo emikulu gyakukwatibwa ku mbuga ye Ssaza e Ssese nga 31 omwezi guno.Keeta