
Abantu 5 bawereddwa ebitanda mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okusimattuka akabenje akabalese nga bamenyese.
Bano bonna nga batuuze be Buwalula mu disitulikiti ye Mityana bategerekeseeko amannya gaabwe nga Joseph Ssekitto,Henry Ssebandeke,Joseph Katalame,Frank Lubulwa n’omugoba w’ekimotoka ekyaakoze akabenje Wasswa Lutaaya.
Kitegerekese nti ekimotoka ekyabadde kitisse amayinja kyalemeredde omugoba waakyo bwekityo nekyefuula olwo nekireka abakibaddeko nga bamenyese emigongo n’amagulu.