Omujaasi wa UPDF yekubye amasasi n’eyetta oluvanyuma lw’okukukuba abantu 4 amasasi mu bbaala.
Private Steven Agune nga akolera mu nkambi y’amagye eya Gadafi Army e Jinja y’agenze mu bbaala n’akuba abantu amasasi okwabadde abasajja 2 n’abakyala 2 bwebyamusobedde neyekuba amasasi neyetta.
Ekyaviiriddeko omujaasi ono okwekyawa n’alumba ebbaala mu gombolola ye Mpumudde tekinatagerekeka .
Abaalumiziddwa baakubiddwa amasasi mu mikono…