Skip to content Skip to footer

Omujaasi wa UPDF yesse

omujaasiOmujaasi wa  UPDF yekubye amasasi n’eyetta oluvanyuma lw’okukukuba abantu 4 amasasi mu bbaala.

 

Private Steven Agune nga akolera mu nkambi y’amagye eya Gadafi Army e  Jinja y’agenze mu bbaala n’akuba abantu amasasi okwabadde abasajja 2 n’abakyala 2 bwebyamusobedde neyekuba amasasi neyetta.

 

Ekyaviiriddeko omujaasi ono okwekyawa n’alumba ebbaala mu gombolola ye Mpumudde tekinatagerekeka .

Abaalumiziddwa baakubiddwa amasasi mu mikono n’amagulu nga kati bali mu ddwaliro ekkului eJinja bajanjabibwa.
aduumira poliisi ye Jinja Felix Mugizi ababiri abaalumiziddwa abamenye nga Grace Nakimera ne Nalubega Olivia nga abalala tebanategerekeka.

 

Leave a comment

0.0/5