Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo olwa nga 29th August 2016 okulonderako ababaka ba palamenti abakyala neba ssentebe bazidisitukikiti empya.
Nga ayogerako nebannamawulire ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda, amyuka ssentebe w’akakiiko kano Joseph Biribonwa ategezezza nga bwebagenda okulondesa mu disitulikiti zino okuli in Kibaale, Omoro, Rubanda ne Kagadi
Okusunsula kwakubeerawo nga 19 ne 20 olwo kampeyini zitandike okuva 22 July okutuukira ddala nga 27 August nga era enteekateeka yonna esuubirwa okumalawo akawumbi kamu mwobukadde 700.
Disitulikiti zino 4 empya zaakakasibwa nga era zitandika egyazo olunaku lwenkya nga 1 July.