Skip to content Skip to footer

Omubaka wa NRM omulala bamugobye mu palamenti

bbOmubaka wa  NRM omulala agobeddwa  mu palamenti.

Kkooti enkulu e Jinja esazizzamu obuwanguzi bwa Hajat Rehema
Watongola nga omubaka wa municipaali ye Kamuli lwampapula zabuyigirize eziliko akabuuza.

 

Amyuka ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Proscovia Salamu Musumba yawawabira Watongola mu kkooti amangu ddala nga okulonda kyekuggye kuggwe mu mwezi ogwokubiri.
nga ayita mu bannamateekabe aba  John Isabirye and Co advocates, Musumba  yategeeza kkooti nga empapula z’obuyigirize eza Hajat Watongola bwezitaali zize.

 

Mu kuwulira omusango guno, Watongola y’akkiriza nga yunivasite bweyasazamu empapulaze zebaali baamuwa wabula n’ategeeeza nga bwewaliwo ekiragiro kya kkooti ekyalagira yunivasite obutakola kino.

 

Kati omulamuzi  Godfrey Namundi ategezezza nga omuwawabirwa bwataleese bujulizi bulaga nti ddala empapula ezogerwako zize era n’alangirira ekifo kye nti kati kikalu n’alagira akakiiko k’ebyokulonda kaddemu okutegeka okulonda okulala nga Watongola wakusasula n’ensimbi ezisasanyiziddwa ku musango ogwo.

Leave a comment

0.0/5