Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Maska okudda e Mbarara.
Akabenje kano kagudde mu Lwengo baasi ya Kampuni ya Jaguar bweyambalaganye bukanzu ne kanta y’amatooke ebadde eyingira Kampala.
Abafudde kubaddeko Nathan Kabagumira ne Kikungire Teopista nga bonna babadde mu kanta y’amatooke.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Ibn Ssenkumbi ategezezza nga akabenje kano bwekavudde ku kuvugisa ekimama.