File Photo: Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija
Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija akwatiddwa ku kitebe kya FDC wano e Najjanankmbi.
Tutegeezedwa nti Kaija agiddwa ku kitebe ky’ekibiina bw’abadde ayogerako eri bannamawulire nga avumirira ekya poliisi okukwata bannakibiina wamu n’abalala okubasibira mu maka gaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasizza okukwatibwa kwa…