Skip to content Skip to footer

Ssabawandiisi wa FDC bamukutte

 

kaija
File Photo: Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija

Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC  Harold Kaija akwatiddwa ku kitebe kya FDC wano e Najjanankmbi.

Tutegeezedwa nti Kaija agiddwa ku kitebe ky’ekibiina bw’abadde ayogerako eri bannamawulire nga avumirira ekya poliisi okukwata bannakibiina wamu n’abalala okubasibira mu maka gaabwe.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasizza okukwatibwa kwa Kaija wabula n’agaana okulambulula ebisingawo.

Kaija ono abadde avumirira ebikolwa bya poliisi nga agamba kuno kulinyirira dembe lyabwe ery’obuntu

Kino wekijidde nga eyaliko ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye akyakumibwa poliisi mu makage e Kasangati, songa mungeri yeemu government yawera nebanamwulire okudamu okuwandiika ku nkola ya FDC gyebaatuma eyokujeema.

Leave a comment

0.0/5