
Abakulembeze b’amawanga 14 bakakasizza nga bwebagenda okwetaba ku mukolo gw’okulayiza pulezidenti Museveni sabiiti eno.
Okusinziira ku minisita akola ku nsonga z’obw’a president Frank Tumwebaze, abasuubirwa kuliko Robert Gabriel Mugabe owa Zimbabwe, Salvar Kiir owa South Sudan, owa Kenya Uhuru Kenyatta owa Tanzania John Magufuli n’abalala.
Tumwebaze agamba nti n’abaliko abakulembeze okuli Mwai Kibaki owa Kenya ne Hassan Mwinyi owa Tanzania nabo basuubirwa.