Amawulire
Abawadde obutwa
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eriko omukazi ow’emyaka 40 gwekutte lwakuwa bantu 30 obutwa.
Dativa Nabatanzi omutuuze we Kagoggo y’awatiddwa lwakulunga bulukuumi mu mmere n’agiwa abalokole b’ekanisa ya Mukama Bwebutukirivu Bwaffe.
Wiiki ewedde abagoberezi 30 baddusibwa mu ddwaliro ly’e Masaka nga bali bubi oluvanyuma lw’okulya emmere erimu obutwa nga era poliisi ebadde ku muyiggo gw’omukyala ono.
Poliisi ekutte Nabatanzi oluvanyuma lw’okutemezebwako omu ku batuuze eyamulaba ku lunaku lweyalunga obutwa buno.
Omu ku bananyini kanisa eno Teddy Nalugo agamba Nbantanzi nga mulirwana ne kanisa yaabwe azze agulumba nabo teyasanyukira kya kanisa kugula ttaka lino nga era yali abalemesa n’okuzimba e kanisa .
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji akaksizza okukwatibwa kwa Nabatanzi nga era wakuyamba poliisi mu kunonyereza kwayo.