Amawulire

Owe Bukomansimbi afudde waragi

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Waragi kills man

Entiisa ebuutikidde abatuuze mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwa waragi okutta omu ku batuuze.

Omugenzi ategerekese nga  John Muyombya 35 omutuuze kukyalo  Kasebwera

Omugenzi abadde mupakasi ku kyalo kino nga akolera abantu obulimulimu wabula nga olunaku lwajjo lwonna y’alumaze yekamirira enkagaali nga era abadde azzeyo n’amakya galeero mu bbala yeyongeremu akagiraasi wabula waragi n’ayitirira n’amukanula.

Banywi banne bategezezza nga omugenzi bwatondose n’afa bwabadde akutte akigiraasi nga aweweeza ku mumiro nga era tebasobodde nakumuddusa mu ddwaliro.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji akakasizza okufa kw’omutuuze ono n’ategeeza nga waragi bwataamuliikirizza ekyavuddeko okumukanula.

 

Agamba kati poliisi eri ku muyiggo gwananayini baala aliira ku nsiko okuyamba poliisi okunonyereza ku nsonga eno.

Mungeri yeemu ategezezza nga poliisi bwegenda okukola ebikwekweto ku mabaala agakeera okuguza abatuuze omwenge kubanga amabaala galina kukola lwaggulo nga abantu bamaze okukola.