Amawulire
Kanisa erabudde abaweereza abaana mu bazungu
Kanisa ya Uganda evumiridde ekikolwa kyabazadde eky’okugaba nga abaana baawe eri abazungu babalabirire , nga kino mukaseera kano kibafudde baddu benyini .
Bwabadde awa obubaka bwa mazaalibwa, ssabasumba we kanisa ya Uganda His grace Stanley Ntagali agambye nti ensangi zino abazadde beesabye abaana baabwe nebasalawo okubawerekereza e bunaayira , ky’agambye nti kuba kwebalama buvunayizibwa bwaabwe.
Mungeri yeemu ono avumiridde ebikolwa eby’okukukusa nga abantu nga babatwala ebweru wa Uganda naddala ab’obuwala, kyoka newankubade babalimba mirimo gyebiweera nga bafuuse bamalaya.