Amawulire

Ogw’omwana eyattibwa ku KCCA gulanze

Ali Mivule

January 20th, 2015

No comments

KCCA kid body.jpg4.jpg5

Kkooti kyaddaaki etaddewo olunaku lw’enasalirawo eggoye ku kya dereeva eyatomera omwana n’amuttira ku KCCA.

Omulamuzi w’eddaala erisooka Joan Aciro ataddewo olunaku lwa nga 23rd omwezi ogujja okuwa ekyenkomeredde ku nsonga za Baguma Anywali .

Kidiridde oludda oluwaabi olukulembeddwaamu Immaculate Nyambajju okutegeeza kkooti nti bakyetaaga okuzzaayo fayilo y’omusango eri ssabawaabi wa gavumenti okuwulira ekyenkomeredde ng’okuwulira omusango tekunnatandika.

Nyambajju agambye nti maama w’omwana ne kitaawe baliko okukkaanya kwebatuukako ne dereeva ono era nebakola ne sitatimenti ku poliisi.

Kati kkooti erindiridde kinaava wa ssabawaabi okulaba oba omusango guno agujjamu enta oba nedda.

Baguma ng’ennaku z’omwezi 17th-Nov-2014  yatomera omwana ow’emyaka ebiri Ryan Semaganda n’amutta mu kikolwa ekyavumirirwa okwetoolola eggwanga lyonna.